Poliisi ekutte abakyala mukaaga (6) abakola obwa malaaya mu Kampala lwa kubba ssente n’ebiwandiiko ku musajja munnansi wa Ethiopia Teijje Tereje.

Abakwattiddwa basangiddwa mu loogi ku luguudo lwa William Street mu kikwekweeto kya Poliisi okuva ku CPS Kampala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, poliisi yatemezeddwaako abantu abaalabye abakazi nga basikambula omusajja Teijje nga bamuyingiza loogi ku kifuba oluvannyuma ne bamwambulamu engoye ne bakuulita nazo.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire era agamba nti Teijje okuva mu loogi, yezingiridde mu ssuuka era abatuuze bawulidde nduulu ng’omusajja asaba kuyambibwa.

Abamu ku bakwattiddwa kuliko Jovia Nabukeera, Joy Apondo, Jesca Karungi, Shamim Nabatanzi, Sharon Nakasi.

Teijje Tereje ku Poliisi (Ekifaananyi kya Bukedde)
Teijje Tereje ku Poliisi (Ekifaananyi kya Bukedde)

Poliisi era egamba nti basobodde okwekebejja Loogi Teijje gye yatwaliddwa era mwasangiddwamu engoye ze, paasiport ye ate bbo abakazi abamu ne bakomyawo emitwalo 35 kyokka doola 700 ne balemwa okuzizza nga kigambibwa nti waliwo munnaabwe eyazitutte.

Ekikolwa ekyo, kyaliwo ku lunnaku olwa Ssande era Poliisi ekyagenda mu maaso n’okukola okunoonyereza.