Kkooti enkulu mu Kampala erangiridde sabiti ejja ku Lwokuna nga 4, October, 2018, okuwa ensala yaayo oba omuyizi Brian Isiko agibwako ekibonerezo eky’okusibwa emyaka ebbiri (2) oba okusigalawo.

Isiko atemera mu gy’obukulu 25, muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja, yasingisibwa emisango 2 omuli okusindiika obubaka obukyamu eri omubaka omukyala owe Kabarole Sylvia Rwabwogo atemera mu gy’obukulu 42.

Omubaka Rwabwogo yafuna obubaka obwenjawulo ku ssimu ye nga Brian Isiko amwepikira nga bwali omukyala omulungi nnyo era amusaba amukirize bafuuke ab’omukwano kuba ky’ekirooto kye.

Omubaka Rwabogo yaduukira mu kkooti era omulamuzi Gladys Kamasanyu owa Buganda Road namusindiika Isiko e Luzira okumala emyaka 2 lwa kusindika obugambogambo, obutisatiisa omubaka Rwabogo.

Omubaka Sylvia Rwabwogo
Omubaka Sylvia Rwabwogo

Wabula Isiko ng’akulembeddwamu munnamateeka we Ramathan Waiswa okuva mu Alaka and Company Advocates, yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya, eky’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Kamasanyu okumusalira ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 2 ate ng’emisango gyonna egyamugulwako, yagyegaana.

Munnamateeka Waiswa ayagala kkooti enkulu, ekibonerezo ekyaweebwa omuntu we (Isiko), okugibwawo wadde yakiriziddwa dda okweyimirirwa okuddayo okutambuza emisomo gye.

Brian Isiko
Brian Isiko

Omulamuzi wa kkooti eyo, abadde asuubirwa okuwa ensala ye enkya ya leero ku Lwokubiri kyoka Isiko abadde awerekeddwako aba famire, bategeezeddwa nti omulamuzi taliwo era omusango gwongezeddwayo okutuusa sabiti ejja ku Lwokuna.

Wabula munnamateeka Waiswa agambye nti bbo, betegese bulungi ddala era balindiridde sabiti ejja.