Poliisi etandiise okunoonyereza ku bigambibwa nti amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango asimatuuse okuttibwa mu kiro ekikeseza olwa leero.
Kigambibwa Onyango yabadde agenda awaka, kwekusanga abasajja abagambibwa nti babadde batemu ku bodaboda mu bitundu bye Kireka nga bakutte emmundu.
Onyango yasobodde okuteteenkanya, okusimatuka abatemu.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti batandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.
Mu kiseera kino essimu ya Onyango egiddwako.
Mu Uganda, bangi ku basirikale battiddwa nga bakubwa amasasi omuli Andrew Felix Kaweesi nga March 17, 2017, Muhammad Kirumira nga 8, September, 2018 n’abalala.