Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza entekateeka y’okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu mu Buganda nga 8, October, 2018 ku mbuga y’eggombolola ya Ssabaddu Nanfumbambi Ntenjeru mu ssaza ly’e Kyaggwe.
Pulogulamu y’emikolo eyanjuddwa Ssentebe w’emikolo era minisita w’obulungibwansi n’okulambula Hajjat Mariam Nasejje Mayanja ku Bulange eMmengo.
Okusinzira ku ntekateeka, ku Lwomukaaga 29, September, 2018 wagenda kubeerawo Bulungibwansi ow’omuggundu okwetoloola amasaza gonna, mu bibuga naddala mu bifo eby’enzigotta ng’omukolo omukulu gwakubeera Lufuka mu Ssabagabo Makindye.

Ku Mmande 1, October, 2018, Katikkiro Charles Peter Mayiga wakutongoza wiiki ya Bulungibwansi e Kikooza- Kauga e Mukono mu Kyaggwe.
Nga 4, October, 2018, minisita Nasejje agambye nti Buganda erimu abaliko obulemu bayitirivu nnyo era olw’embeera eyo wategekeddwawo omusomo ku ngeri y’okubudabuda abantu abbo ku mbuga y’essaza e Kyaggwe.
Okuva nga 5, October, 2018 okutuusa 7, October, 2018, Obuganda bugenda kwegattira wamu okusabira ensi eno mu masinzizo agenjawulo.
Nga 6, October, 2018 wategekeddwawo olusisira lw’ebyobulamu ku mbuga y’eggombolola e Ntenjeru ate ku mbuga y’essaza mu Ggulu lwa mateeka.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asuubirwa okutandika okulambula Kyaggwe ku Lwomukaaga October 6,2018 ng’atuukako ku mbuga y’essaza mu Ggulu,Okulambula omulimi eyasinga banne mu Buganda, okulambula mayiro ya Bulungibwansi ate ku Mmande October 8,2018 lwe lunaku lwa Bulungibwansi, Buganda kwejjukirira olunaku kweyafunira obwetwaze okuva ku Bangereza era abakungu bangi nnyo abayitiddwa.