Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool avuddeyo mu bukambwe okusomesa abantu mu ggwanga lyona amakulu g’ekigambo People Power.
Omuyimbi Bobi Wine yakulembera ekisinde ky’abawagizi ba People power mu Uganda n’okusingira ddala abavubuka abagala enkyukakyuka mu bukulembeze.

Okusinzira ku Bobi Wine, People Power kitegeeza buyinza bw’abantu nti basobola okubweyambisa okwetusaako kyebetaaga.
Wabula Bebe Cool asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusomesa abantu amakulu g’ekigambo People Power.
Bebe agamba nti People Power kitegeeza nti obuyinza buli eri abbo abalina obuyinza “POWERBELONGSTOTHEPEOPLEWITHPOWER”.
Wabula abawagizi ba Bobi Wine bamutabukidde bamuvumidde ku Face Book nga bwali omusajja omusiru, talina magezi n’ebigambo ebirala.

Abantu bamwanukudde mu busungu



