Poliisi ekutte omwana ku by’okutta nnyina sabiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano nga 28, September, 2018.
Muhammad Moshen myaka 22 yakwattiddwa ku by’okutematema nnyina Yusmin Dure myaka 42, abadde omutuuze ku kyalo Wanyange Central mu ggoombolola y’e Mafubira mu disitulikiti y’e Jinja.
Okusinzira ku batuuze, omulambo gwasangiddwako ebisago omubiri gwona, wansi ku ttaka mu kitaba ky’omusaayi.
“Amuttidde mu ddiiro okumpi n’omulyango oguyingira mu kisenge kye era basanze omulambo gwe gungaηηamye mu kitaba ky’omusayi” omu ku batuuze.
Wabula akulira Poliisi okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Wanyage, Jaffar Satte, omuvubuka Muhammad akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.