Omuyimbi Bebe Cool aduukidde eri Omutonzi okumutegeeza ku bigenda mu maaso mu bulamu bwe.
Bebe agambye nti wadde musajja musiramu, yasobodde okuwerekerako nnyina mu kereziya ya st Paul church mu kibuga Boston mu ggwanga erya America okusaba Omutonzi n’okumwebaza obulamu.

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okusiima Omutonzi kwebyo byebatuseeko mu mbeera yonna.
Mu Lungereza, Bebe agambye bwati “Despite being a Moslem,went to say thanks to the Lord in my mother’s st Paul church in Boston today. We tend to take life for granted, concentrate on demanding for more forgetting to appreciate the little we have.#NKOLAKUKYEJJO”.



