Gen Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu ggwanga alindiriddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti, okuwuliriza oludda oluwaabi werutuuse mu kunoonyereza ku misango egyamugulwako.
Omuwaabi wa kkooti y’amagye Maj. Raphael Magezi agenda kuteeza kkooti webatuuse ku nsonga eyo.
Gen Kayihura wadde bamukiriza okweyimirirwa, bamugulako emisango 3 omuli

1 – Okuyambako mu kukwata bannansi ba Rwanda abaali bafunye obubudamu mu Uganda kw’ossa ne Bannayuganda ne bazzibwa mu Rwanda mu ngeri emenya amateeka.
2 – Okulagajjalira eby’okulwanyisa bya gavumenti ne bikozesebwa ebitongole okuli Flying Squad, Special Operations Unit, Witness Protection Unit ne Crime Intelligence Directorate of Uganda Police Force wakati wa 2010 – 2018. Abamu ku baali bakulira ebitongole bino okuli Herbert Muhangi, Col. Ndahura Atwooki ne Nixon Agasirwe nabo baakwatibwa amaggye ku misango egy’enjawulo era bakyattunka n’emisango.
3 – okuwa emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala eri abantu abatakkirizibwa kubeera nabyo okuli n’abeekibinja kya Bodaboda 2010 ekyali kikulirwa Abdallah Kitatta. Ekyo kikontana n’akatundu 122 mu tteeka lya UPDF erya 2005.
Emisango gyonna, Gen Kale Kayihura yagyegaana.