Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Gulu Yusuf Ndiwalana, ayongezaayo omusango oguvunanibwa omubaka we Kyadondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne 36 ogw’okulya mu nsi olukwe, okutuusa 3, Desemba, 2018.
Omulamuzi okwongezaayo, kidiridde oludda oluwaabi okusaba okubongera obudde, okusobola okomekereza okunoonyereza kwabwe.
Wabula mu kkooti, abavunanibwa okubadde omubaka wa Munisipaali y’e Arua, Ezati Kasiano Wadri, owa Jinja East- Paul Mwiru, n’eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, n’abalala begatiddwako kanyama wa Bobi Wine, Edward Sebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe n’omukozi Musa Ssenyange abakwatibwa oluvanyuma era ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.
Munnamateeka wa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne banne, Asuman Basalirwa awanjagidde omulamuzi nti olw’okutambula eng’endo empanvu omuli okuva mu Kampala ne Arua, bateekeddwa okuweebwa ennaku eziwerako obutanyigirizibwa mu byantambula.
Mungeri y’emu asabye omulamuzi okubakiriza okulambula abasibe okuli Eddie Mutwe ne Musa Ssenyange nga webakola ku nsonga zabwe ez’okusaba ez’okweyimirirwa.
Omulamuzi Ndiwalana akiriza okusaba kw’oludda oluwawabirwa era omusango agwongezaayo okutuusa nga 3, Desembe, 2018.
Mungeri y’emu alagidde Poliisi y’amakkomera, okuwa omukisa bannamateeka okulaba abantu babwe obudde bwona okuva ku ssaawa 1 ey’okumakya paka ssaawa 6 olw’eggulo.