Poliisi eyanjulidde akakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu alipoota ku bantu abazze battibwa mu bukambwe mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Okusinzira kw’alipoota eyanjuddwa amyuka adduumira Poliisi mu ggwanga Brig. Muzeeyi Sabiiti, tewali muntu yenna yakwatiddwa ku by’okuttibwa kwa Ibrahim Abiriga eyali omubaka we Arua mu lukiiko lw’eggwanga olukulu eyattibwa nga 8, June, 2018 e Kawanda mu disitulikti y’e Wakiso ne Joan Kagezi Namazzi eyali omuwaabi wa Gavumenti, eyattibwa nga 3, March, 2015 okumpi n’amakaage e Kiwatule.

Brig. Sabiiti era agambye nti ku bantu 9 abakatibwa, abakulu mu ggwanga lino, abantu 105 bakwatiddwa.
Ate ku by’okutta omusirikale Muhammad Kirumira eyali adduumira Poliisi y’e Buyende n’omukyala Resty Nalinya, abantu 9 bakwattiddwa era essaawa yonna babatwala mu kkooti.
Sabiti era agambye nti ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, abantu 8 basindikibwa mu kkooti enkulu ate abantu 7 bali mu kkooti ku by’okutta Maj. Mohammed Kiggundu ne Sgt. Steven Mukasa.
Ate ku by’okuwaamba n’okutta omukyala Suzan Magara abantu 9 bali ku limanda, 3 bakyayigibwa.
Brig. Sabiiti era agambye nti ku bakyala abasukka 20 abattibwa e Nansana ne Town Council y’e Katabi Entebbe, abantu 17 basindikibwa mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu.
Abantu 11 basindikibwa mu kkooti enkulu ku misango gy’okutta abasiramu omuli sheikh Ibrahim Kirya, Mustafa Bahiga n’abalala.
Wabula Brig. Sabiiti agambye nti okuteeka kamera mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, kigenda kuyambako mu kunoonyereza abenyigidde mu bikolobero.
Mu Palamenti, amyuka ssentebbe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Safia Nalule ne banne balumiriza Poliisi okukwata abantu nga tebalina misango wabula okuwayiriza ne basindikibwa mu makkomera, Brig. Sabiiti ne banne kyebawakanyiza.