Poliisi etandiise okunoonyereza abatemu abakulembeddemu okutta ssemaka Robert Nyende abadde avuga bodaboda mu town council y’e Matugga mu disitulikti y’e Wakiso.
Nyende yakubiddwa amasasi omusabaze gwe yabadde atwala mu kiro, ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku bodaboda ye namba UET 291Q ku luguudo lwe Matugga – Semuto era mu disitulikti y’e Wakiso.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga Poliisi bwegenda mu maaso n’okuyigga abatemu.
Omugenzi agenda kuziikibwa olunnaku olwaleero ku kyalo Nkozi mu ggoombolola y’e Kapeeke era wafiridde abadde n’omukyala n’abaana 4.
Bodaboda y’omugenzi Nyende aterekeddwa ku Poliisi y’e Matugga.