Kyaddaki Dr Kizza Besigye, abikudde ekyama lwaki, ebitongole ebikuuma eddembe, mulimu abakyamu abenyigira mu kumenya amateeka n’okusingira ddala okubbisa emmundu.

Dr Kizza Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi 4, agambye nti embeera embi, yeviriddeko abasirikale okwenyigira mu kubba.

Bw’abadde eyogerako eri bannamawulire, agamba nti kyewunyisa omusirikale abakuuma eggwanga okufuna omusaala gwa mitwalo 50 buli mwezi ate ng’abbo abakise ba Palamenti bafuna obukadde obusukka 30.

Ku mbeera eyali mwa Arua omwezi ogw’omunaana, eyavirako, abantu bangi okwattibwa abasukka 30 omuli abakise ba Palamenti ne Yasin Kawuma eyali ddereeva wa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuttibwa, Dr Kizza Besigye agambye nti kyali kigendereddwamu okutta Bobi, ye akwatibwe,”What was to happen in Arua was to kill @HEBobiwine and arrest Besigye immediately for the death. It was a comprehensive plan. Fortunately there is a God above stronger than all these evil forces but non the less, someone is in his grave

Amyuka omwogezi wa Gavumenti Shaban Bantariza mu kuwaayo ssente sabiti ewedde
Amyuka omwogezi wa Gavumenti Shaban Bantariza mu kuwaayo ssente sabiti ewedde

Ate ku ky’omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Museveni okutambula ebitundu by’enzigotta okuyamba abantu b’omu “Ghetto”, Besigye agambye nti okumansamansa ssente, tekigenda kuyamba kuddabulula embeera abantu abbo, gye bawangaliramu.

Okuwandiisa aba LDU
Okuwandiisa aba LDU

Besigye era awakanyiza ebigambibwa nti aba LDU abawandisiddwa okunyweza ebyokwerinda mu Kampala, Wakiso ne Mukono, bagenda kuyambako okutebenkeza ebitundu.

Agamba nti aba LDU, bateekeddwa okuva ku byalo ng’emirimu gyabwe, giri wansi wa bassentebe ku byalo nga eky’okubasindiika wansi w’ekitongole ky’amaggye tekigeenda kuyamba,
It is the UPDF recruiting and not the village leaders. The idea is that these LDUs will be deployed in the villages. There was no money for this recruitment but budget re-arrangement is on-going to raise 57 billion for this recruitment“.

Dr Kizza Besigye eyaliko ssenkagare w’ekibiina kya FDC agamba nti, ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti Gavumenti enafuye era bannayuganda basemberedde okugigyako, “The regime is finished. We should not betray our country, we should get together and save our country. Yes we are not active in the public view but we have been active in laying the ground to respond to all this“.