Ssentebbe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Malangala mu disitulikiti y’e Mityana, aduuse ku kyalo lwa Poliisi okumuyiga ku by’okusobya ku mwana atanetuuka.
Ssentebe Monday Kasule Buwembo yasenzesenze muto wa Mukyala we atemera mu gy’obukulu 15, namusobyako ng’amusuubiza okumuwa ssente ezibanjibwa ku ssomero.
Mu kiseera ekyo, mukyala we yabadde ageenze mu ddwaaliro, gye yakulungudde ennaku 3.

Omukyala agamba amangu ddala ng’akomyewo, muto we eyabadde mu maziga, yalomboze ekyamutuseeko, namutegeza nti bba (Buwembo), yamusubiza okumutusaako obulabe singa ategeeza ku Poliisi.
Mu kiseera kino omusango gutuuse ku Poliisi era omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala, Norbert Ochom agambye nti wadde ssentebbe Buwembo yasobodde okuduuka, omuyigo gwatandiise dda.