Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima asambaze amawulire agatambulira ku mikutu gya Social Media nga Poliisi bwetagenda kukiriza omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu okugenda mu konsati y’oluyimba Kyalenga mu kisaawe e Namboole nga 20, October, 2018 kyoka omuyimbi Bobi Wine wakukirizibwa.

Okusinzira ku bubaka obuyitingana ku Face Book, Kayima mbu agamba nti Poliisi eteekeddwa okuteekawo obukwakulizo, Bobi Wine bwateekeddwa ogoberera mu kutekateeka konsati kyoka omubaka Kyagulanyi Ssentamu talina kutwalayo byabufuzi mu kisaawe e Namboole.

Wabula Kayima agamba nti bantu bateekeddwa okukomya okuteeka ebigambo ku kamwa k’abantu kuba mu kiseera kino yagenze mu luwumula era ebigambo ebyo ebiyitingana tabimanyiko wadde.