Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine azudde ekyama ekisobola okubayamba okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino.
Bobi Wine agamba nti okwegatta g’emaanyi era kyekisobola okuyamba okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu 2021.

Okubyogera, abadde yakamala okusisinkana eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Dr Kizza Besigye mu makaage e Kasangati.
Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okutegeeza nti “UnityIsStrength”, ekiwadde abawagizi mu kisinde kya People Power essanyu.
Abamu ku bawagizi ba People Power bagamba nti Bobi Wine okwegatta ne Dr Besigye alonze bulungi ku banabyabufuzi abeegwanyiza entebbe era 2021, balina esuubi okuwagula Museveni.




