Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II avuddeyo ku nsonga z’abavubuka ebbula ly’emirimu, okuzimba amaka n’okusomesa abaana mu Uganda.
Beene bw’abadde ayogerako eri abantu be ku ntiiko y’omukolo ogwa Bulungi Bwansi, Gavumenti z’eitundu ku mbuga ya Ssaabaddu e Ntenjeru mu ssaaza lye Kyaggwe, agambye nti okusinzira kw’alipoota aba National Population and Housing Census 2016 gye bafulumya, abavubuka mu Uganda bakola ebitundu 78 ku buli 100 wansi w’emyaka 30, ekiraga nti basaale mu kukulaakulanya Obuganda.

Kabaka agambye nti “okusinziira ku report eyafuluma 2016, abantu mu Uganda abali mu myaka 30 n’okukka wansi bali 78%, n’olwekyo abavubuka basaale mu kulaakulanya Buganda, Ensi nnyingi zirina abakadde bangi naye beegomba ffe abalina abavubuka abato”.
Ate ku nsonga y’okutumbula talenti mu baana, Magulu Nnyondo agambye nti ” Emirundi mingi tetuWa baana baffe mukisa kukola kyebaagala, tubasalirawo busalirizi ekintu ekyobulabe mu kusanyawo talenti, tulina abavubuka bangi abayigirize obulungi naye nga tebasobola kugasa maka gaabwe yadde okugasa bbo bbennyini”.
Kabaka era agambye nti, “abavubuka waliwo emirimu gye bakola nga batudde mu ntebe, naye egyo tegikyavaamu birungi naye emirimu omuli, egy’ebibira, ku nnyanja givaamu ensimbi nnyingi nnyo”.
Ate ku ky’okutekawo ebibiina by’obwegasi okuyamba abantu okwekulakulanya Maaso Moogi ajjukizza,” Ebibiina okuli, East Mengo byayamba nnyo abantu okwegatta, mbakubiriza okuteekawo ebibiina by’obwegassi musobole okwekulaakulanya mwenna, tuwulira buli kiseera nti Gavumenti etuyambe, waliwo emirimu mingi mwetuyinza okujja ensimbi omuli, okwoza socks, okulima”.
Kabaka era asiimye abavubuka okuvaayo okwenyigira mu by’obukulembeze,”abavubuka kati bangi mu bukulembeze bw’ebika, tukubiriza Abakulu b’ebika okutandikawo amakampuni okusobola okuwa abazzukulu emirimu”.

Ku mukolo, ne Kattikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde ensonga ezenjawulo ekiwadde abantu ba Kabaka essannyu.
Mayiga agamba nti ” Eggwanga erikula lyesigama ku byafaayo. Kabaka Mutebi alijjukirwa nti yazzaawo enkola ya Bulungibwansi, tukubiriza abantu bakolenga Bulungibwansi buli Lwamukaaga okuva ku ssaawa emu ppaka bbiri nga bakulembeddwamu abaami ba Kabaka, Bukya K2 edda ku mpewo, abantu abasinze okwewandiisa be Kyaggwe, nangirira nti okutandika nga 15 October, essimu zammwe abalina K2 zijja kuba zisoma ebigambo K2 ewagiddwa Airtel. Kiragiro eri abaami ba Kabaka bonna, mulina okubeera ne layini ya K2 mu kutambuza emirimu gyamwe”.