Omulamuzi w’eddaala erisooka e Kiboga, Ronald Nsobya atomedde abantu basatu (3) ne bafirawo mbagirawo enkya ya leero ku kyalo Nkoowe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abafudde kuliko William Mwanje owa bodaboda, Beatrice Musima myaka 52 n’omuzzukulu Jasmine Njoge myaka 5 ate Stephen Tendo myaka 5 alumiziddwa nnyo era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’ali mu mbeera mbi.

Abantu 4 babadde ku bodaboda namba UDR 878, emmotoka y’omulamuzi Nsobya namba UBB 806E Mercedes Benz n’ebasaabala.

Mwanje, Musima ne Njoge bafiriddewo ate omulamuzi Nsobya akwattiddwa era akumibwa ku Poliisi y’e Wakiso.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti emmotoka y’omulamuzi ne Bodaboda bitwaliddwa ku Poliisi era okunoonyereza kutandiise.