Ebikujjuko bikyagenda mu maaso mu bitundu bye Sheema North oluvanyuma lwa Naome Kibaaju owa National Resistance Movement (NRM) okuwangula okulonda okukikirira abatuuze mu kitundu ekyo mu Palamenti mu kalulu akakubiddwa olunnaku olw’eggulo ku Mmande.

Okusinzira ku birangiriddwa Deborah Asiimwe, akulira eby’okulonda mu kitundu ekyo, Kibaaju yafunye obululu 11,326 ate Guma Nuwagaba owa Forum for Democratic Change (FDC) amalidde mu kyokubiri n’obululu 7322.
Akalulu kakubiddwa, oluvanyuma lwa Minisita wa sayansi ne tekinologiya Elioda Tumwesigye okuva mu Sheema North neyesimbawo era nalondebwa ng’omubaka wa Sheema.