Poliisi y’e Lyantonde ekutte omusirikale waayo ku by’okubba namber Plate ku mmotoka ezenjawulo.
Kasimu Mukibi omusirikale ku Poliisi y’e Kyazanga yakwattiddwa.
Mukibi okwattibwa, kidiridde Poliisi okukwata abantu babuligyo babiri (2) okuli Brian Muyanja ne Simon Ssentamu nga bonna batuuze mu town council y’e Kyazanga ne balumiriza omusirikale okubayambako mu kutambuza emirimu gyabwe mu bitundu ebyenjawulo okuli Masaka, Sembabule, Lyantonde, Lwengo ne Rakai.
Okusinzira kw’adduumira y’e Lyantonde, Kereni Namara Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza abakyekwese ate abakwatiddwa bagenda kubayambako okuzuula bannabwe.