MINISITA atalina mulimu gwa nkalakkalira Haji Abdul Nadduli alabudde ebitongole ebikuuma eddembe omuli Poliisi okukomya okukuba Omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine kibooko n’abawagizi b’ekisinde ekya People Power.
Minisita Nadduli agamba nti Bobi Wine asobodde okuyamba Gavumenti okutambula ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okusomesa abantu n’okusingira ddala abavubuka ebikwata ku sseemateeka wa Uganda.

Nadduli agamba nti sseemateeka wa Uganda agamba nti obuyinza buli mu bantu “Power belongs to the People” era Bobi Wine okusomesa abantu okutegeera ekyo, asobodde okweyambisa enkola eya “People Power”, ekigenda okuyamba abavubuka bangi nnyo okuvaayo mu kiseera ky’okulonda.

Agamba nti okukuba omuntu ayambako Gavumenti okusomesa abantu sseemateeka kikyamu nnyo era abakikola bateekeddwa okukikomya.