Omuyimbi Bobi Wine ne munne Octopizzo bategese ekivvulu gaggadde mu ggwanga erya Kenya olunnaku olwaleero.

Ekivvulu kitwaliddwa mu Ghetto za Kibera mu kisaawe kye Kamukunji era okuyingira kwabwereere okuva ku makya okutukira ddala ku ssaawa 7 ez’emisana.

Mu Africa, kibera ky’ekitundu ky’enzigota ekisingamu abantu abangi era Bobi Wine ali mu ggwanga erya Kenya ku bugenyi bw’ennaku 6 era asobodde okusisinkana abantu abenjawulo omuli ne bannayuganda abawangalira mu Kenya.

Bobi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza ensi yonna ku kivvulu ekyo,