Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayugumizza bannansi mu ggwanga erya Kenya era bangi bakiriza nti alina “Work”.

Bobi yegatiddwako mukwano gwe Babu Owino, ababaka ba Palameti abavubuka n’abakulu abalala mu Gavumenti era bakubye olukungaana gagadde e Jakaranda mu konsituwensi ye Embakasi East olwasombodde nnamungi w’omuntu.

Ku mukutu ogwa Face Book, Bobi wine agambye nti okwegata n’okukolera awamu, kigenda kuyamba nnyo okuleeta enkyukakyuka mu Africa yonna.