Poliisi ekutte abantu bataano (5) ku by’okunywa Shisha mu town council y’e Bugembe, Jinja mu kikwekweeto ekikoleddwa.

Abakwattiddwa kuliko Godfrey Tumusiime, Maureen Kwagala, Ali Maganda, Andrew Ssali ne Julius Kiyinji era bonna basangiddwa nga bekwese mu bbaala ya Trek-bar and Lounge banywa Shisha, ekintu ekimenya amateeka.

Akulira Poliisi y’e Bugembe, Sam Talemwa agambye nti abakwattiddwa bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe amangu ddala nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.

Kinnajjukirwa, Palamenti yakola enongosereza mu ssemateeka wa Uganda mu 2015, Shisha nawerebwa era omuntu yenna singa akwattibwa, asasula engasi yamitwalo 48 oba okusibwa emyezi 3 oba byombi.