Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asuubiza okuwaayo obuwumbi 3 n’obukadde 800 eri ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes singa eddamu okukola ebyafaayo okuddayo mu mpaka za Africa eza Africa Cup of Nations, omwaka ogujja gwa 2019, ezigenda okuyindira mu ggwanga erya Cameroon.

 Museveni ne Uganda Cranes

Museveni ne Uganda Cranes

Ekyama ekyo, kirangiriddwa ssentebe w’ekitongola ekitwala ebyemizannyo mu ggwanga ekya National Council of Sports, John Bosco Onyik  bw’abadde awayamu naffe.

Onyik agambye nti Pulezidenti Museveni okuvaayo nasuubizza ssente, kabonero akalaga nti Gavumenti eyongedde okuwagira ebyemizannyo n’okutumbula talenti mu bannayuganda.

Nga bwekiyimiridde mu kibinja L, Uganda erina obubonero 10, Tanzania 5, Cape Verde 4 ate Lesotho 2 era yekwebedde.

Uganda okuyitamu okugenda mu Cameroon, ekyanoonya kabonero kamu era omwezi ogujja ogwa November nga 16 egenda kukyaza Cape Verde mu kisaawe e Namboole.