Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine atabukidde abakulira ekisaawe kye Namboole okuzinira ku ntoli za Gavumenti ku buli nsonga yonna.

Bobi Wine agamba nti Gavumenti eyongedde okunyigiriza bannansi mu ngeri ezenjawulo era y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okusindikiriza abakulira Namboole okusazaamu ekivvulu kye emirundi ebbiri (2) nga bekwasa obusongasonga obutono obutaliimu.

Mungeri y’emu alabudde abakulira e Namboole okukola omulimu gwabwe nga tewali muntu yenna abasindikirizza kuba buli muntu yenna mu Uganda alina okweyagalira mu kisaawe kye Namboole.

Bobi Wine era akowodde abayimbi, bannakatemba, abazannyi ba firimu n’abantu abalala okuvaayo okulwanirira eddembe lyabwe kuba okuyimiriza ekivvulu kye emirundi ebbiri (2), kabonero nti Gavumenti eremeddeko okutyobola eddembe ly’obuntu omuli okubalemesa okwogera n’okulinyirira eddembe ly’abayimbi.

Bobi agamba nti “No matter how much pressure you get from the regime, always do your job without fear or favor. Namboole belongs to Uganda. It is not private property. The positions you hold there are public positions. You must never use them against the people. To all artistes and other well meaning Ugandans, we should know that this is not an attack on Bobi Wine. It is an attack on all of us. It is an attack on music, on the arts, on business, on free expression and on our livelihood as citizens“.

Kinnajjukirwa nti ekivvulu kya Bobi Wine kyabadde kirina okubaayo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 20, October, 2018 kyoka abakulira ekisaawe kye Namboole bakiyimiriza kuba wabadde walina okubaayo emikolo emirala omuli embaga.

Bakiriziganyiza n’abategesi b’ekivvulu okukyusibwa ne balangirira nga 9, November, 2018 kyoka ebiriwo biraga nti sikyakubaayo.