Kyaddaki omusika wa Asp Muhammad Kirumira eyali DPC w’ebuyende alagiddwa eggwanga enkya ya leero.
Kirumira wamu n’omukyala Resty Mbabazi bakubwa amasasi agaabatiirawo nga 8th September 2018 mu bitundu bye Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Poliisi yakwata abantu abenjawulo kyoka mu kiseera kino Abubaker Kalungi (42) nga mu bazzi mu bitundu bye Bulenga ali ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga 31st, October 2018 ku misango gy’okutta Kirumira.
Olunnaku olwaleero, omusika wa Kirumira alagidde ku mikolo egibadde e Mpambira e Masaka era bamusibiridde entanda okweyisa obulungi nga kitaawe omugenzi Kirumira bwe yali.


