Ekitongole ekitekateeka ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA), kitadde mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza bannanyini bizimbe mu Kampala okusoloza ssente ku bapangisa abagenda mu kabuyonjo okweyamba.
Okusinzira ku kiragiro ekirabiddwako omukutu gunno, abakulu mu kitongole ekya KCCA, bajjukiza bannanyini bizimbe nti kabuyonjo zabwereere ku bizimbe byabwe eri omusuubuzi yenna ayagala okweyamba era bateekeddwa okukiteeka mu nkola mu bwangu.

Ekiragiro kye kimu, n’abasuubuzi mu butale obwenjawulo n’ebifo ebyolukale, tebateekeddwa kugibwako wadde 100 nga bagenze okwetawuluza.
Mu Kampala, abasuubuzi bagibwako wakati 200 ku 500 mu kabuyonjo era bangi ku bapangisa babadde bakiwakanya.
Omwogezi w’ekitongole ekya KCCA, Peter Kaujju agambye nti basobodde okusisinkana bananyini bizimbe mu Kampala era bakiriziganyiza okukomya okusoloza abantu ssente mu bwangu ddala.
Mungeri y’emu agambye nti omugagga yenna nanyini kizimbe singa agyemera ekiragiro kyabwe, bagenda ku mukangavula.
Mu lungereza, KCCA eyogedde, “The Management of Kampala Capital City Authority hereby issues a reminder to property owners, tenants and the public at large that access to toilet facilities in buildings such as arcades, markets and public places among others must be free. This directive takes immediate and all property owners are expected to comply. KCCA will start conducting inspections to ensure compliance by Business owners and Landlords in providing free access to sanitary facilities by their workers and customers”.
Eddoboozi lya Peter Kaujju