Kkooti y’amaggye ekalize basajja baayo babiri (2) emyaka 40 buli omu lwa butemu n’okubba ssente obukadde 435 okuva mu dduuka eritunda ebizimbizibwa (hardware) mu disitulikiti y’e Masaka.
Abakaligiddwa kuliko Derrick Jumba ne Matia Bukenya Kiiza.
Ssentebbe wa kkooti Lt General Andrew Gutti bw’abadde awa ensala ye, agambye nti bonna basibiddwa emyaka 40 n’emyezi 3 kuba bakiriza emisango ate balina famire wadde n’abantu abattibwa baalina famire era bali bateekeddwa okulabirira abantu babwe.
Jumba ne Bukenya nga 1, July, 2018 balumba edduuka ly’ebizimbisibwa erya Moses K Hardware mu disitulikiti y’e Masaka ku luguudo lwa Mawogola ne batta omukuumi Moses Musinguzi ne batwala n’emmundu ye ekika kya AK47 n’amasasi 30.
Mungeri y’emu bakuba amasasi ne batta Sharif Kiggundu eyali omukozi ku Moses K hardware n’okubba obukadde bwa ssente 435 okuva mu Musa K hardware ery’omugagga Moses Kalisa amanyikiddwa nga Muto.
Sabiti ewedde nga 16, October, 2018 Jumba yakkiriza omusango gw’okubba n’okutta kyoka yasobodde okutegeeza kkooti nti yasasulwa obukadde 15 oluvanyuma lw’okubba, munne Bukenya yadduuka ne ssente zonna.
Ssentebbe Lt General Gutti abasibye emyaka 40 lwa kubba nga beeyambisa emmundu ne myaka 40 lwa butemu kyoka ebibonerezo byombi bigenda kutambulira wamu.