Okuwuliriza emisango egivunaanibwa Abdullah Kitatta, giddamu enkya ya leero, mu kkooti y’amaggye Makindye.

Kitatta yakulembera akabinja ka Bodaboda 2010 era ye ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Rubaga yakwattibwa ku misango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa eby’amaggye omuli amasasi, emmundu mungeri emenya amateeka.

Oludda oluwaabi, lukyagenda mu maaso n’oluleeta obujjulizi era olunnaku olw’eggulo, akulira ebikwekweeto mu kitongole ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI), Major David Agaba yalumiriza Kitatta okusangibwa n’emmundu era namutegeeza (Kitatta) nti yamuweebwa ekitongole ekya Poliisi.

Mungeri y’emu Kitatta, mbu yagezaako okulemesa ebitongole by’okwerinda okukwata abantu abali bateeberezebwa okwenyigira mu kutta Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo mu Case Hospital mu Kampala.

Ekalungar yattibwa January, 2, omulambo gwe ne bagusuula e Kajjansi ku lw’e Ntebe we baagwokera.

Kitatta ne banne mu kkooti
Kitatta ne banne mu kkooti

Olunnaku olwaleero, ssentebe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti, agenda kuwa obudde Major David Agaba okomekereza obujjulizi bwe n’oludda oluwawabirwa, okubuuza Maj Agaba ebibuuzo.

Mungeri y’emu, kkooti esuubirwa okuwa ensala yaayo, kukusaba okwatekebwayo Kitatta okweyimirirwa era yawaayo ensonga ezenjawulo omuli alina famire, musajja mulwadde nga yetaaga obujanjambi n’ensonga endala.

Kitatta yakwattibwa nga 19th, January, 2018 era avunaanibwa ne banne 12 omuli Matia Ssenfuka, Joel Kibirige, Hassan Ssemata, Jonathan Kayondo, Ssengooba Hassan, Sande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Amon Twinomujuni.