Kyaddaki ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okujjukiza ebitongole ebikuume eddembe amateeka ge balina okutambulirako, okutangira n’okugumbulula abekalakaasi, abatujju, ababbi n’abantu bonna abateeberezebwa okwenyigira mu kumenya amateeka.

Museveni asobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ era anokoddeyo engeri abasirikale gye bateekeddwa okutambuzamu emirimu gyabwe.

Museveni agambye nti abasirikale bateekeddwa okusembaza abantu okusinga okubasindikiriza kuba kiyamba nnyo mu kunoonyereza.

Ku bantu abekalakaasi, Museveni agambye nti abasirikale bateekeddwa okweyambisa amazzi agasiiwa singa gabaawo ate singa gagwawo, balina okweyambisa engabo zabwe (shields).

Mungeri y’emu agambye nti singa embeera esajjuka, abasirikale bayinza okweyambisa amasasi (rubber bullets) n’omukka ogubalagala okutebenkeza embeera.

Museveni agamba nti singa abekalakaasi balemerako nga bayinza okutta omuntu oba okwonoona ebintu, abasirikale bayinza okweyambisa amasasi genyini nga balina okutandikira n’okukuba amasasi mu banga nga singa abekalakaasi bagyema, balina okubakuba ku nnyama.

Museveni agamba nti singa bakwata omuntu yenna ateberezebwa okwenyigira mu kumenya amateeka, tewali omuntu yenna, gwe balina kukuba kibooko, battuuni wadde ekigala ky’emmundu kuba kimenya amateeka.

Mungeri y’emu agambye nti omusirikale yenna okukwata omuntu yenna, ateekeddwa okwenjula eri omuntu gw’agenda okukwata, okutangira abantu abakyamu, abayinza okweyambisa okutyobola eddembe ly’obuntu, nga befudde, abasibuka mu bitongole ebikuuma eddembe.

Abasirikale nga bakuba Kawooya
Abasirikale nga bakuba Kawooya

Kinnajjukirwa, sabiti ewedde Yusuf Kawooya owa Democratic Party (DP) yakwatiddwa abaserikale abakolera wansi w’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI nga kikolaganira wamu n’ekya JATT (Joint Anti-Terrorism Task Force) ekikola ebikwekweto by’amagye ku bantu abali mu misango eminene naddala egyekuusa ku butujju.

Kawooya bamukwata ku Lwakuna ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana era baamutayizza okumpi ne Klezia ya Christ The King mu Kampala.

Yali agezaako okudduka ne yeekoona ku mmotoka n’agwa era abaserikale abaali mu ngoye eza bulijjo kwe kumugwako ne batandika okumukuba obubi ennyo, oluvannyuma lw’okumusiba empingu ku mikono gyombi.

Bamukulula ku kkolaasi ne bamusukuma mu takisi UAF 325S ne bamutwala, oluvanyuma ku Lwokuna nga 25, October, 2018 yayimbulwa kakalu ka Poliisi.