Poliisi e Nansana ekutte omuvubuka myaka 24 ateberezebwa okumenya amayumba g’abatuuze natwala ebintu ebyenjawulo.

Moses Muwanguzi omutuuze w’e Namungoona, Luyinja yakwattiddwa era asangiddwa n’ebintu omuli ttiivi (Flat Screen) ebika ebyenjawulo.

Poliisi egamba, abatuuze babadde basukkiridde okwemulugunya ku Muwanguzi kuba talina mulimu gumanyiddwa kyoka buli lunnaku abadde aleeta ttiivi ezenjawulo.

Ku ttiivi ezisangiddwa mu nnyumba, ebbiri (2) bananyinizo bavuddeyo era bategeezeza Poliisi nti ababbi bamenya amayumba gabwe ne batwala ebintu ebyenjawulo era omusango bagutwala ku Poliisi y’e Nabweru.

Muwanguzi akumibwa ku Poliisi y’e Nansana, omusango gutekeddwa ku fayiro namba SD:26/27/10/2018 ku misango 3 omuli okusangibwa n’ebintu ebibbe, okumenya amayumba n’obubbi.