Omuyimbi Omumerika, Kanye West ne mukyala we Kim Kadarshian bagenda kudda mu Uganda omwaka ogujja ogwa 2019 mu February.

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, Gavumenti emaliridde okutumbula ebyobulambuzi nga batekawo embeera esobozesa buli muntu yenna okweyagala.

Godfrey Kiwanda Ssuubi
Godfrey Kiwanda Ssuubi

Minisita Kiwanda bw’abadde alangirira Kampeyini okutumbula ebyobulambuzi mu biseera bya ssekukulu etumiddwa “Christmas Tulambule Campaign” mu Kampala agambye nti betaaga ba Ambasada b’ebyobulambuzi bangi okutumbula ebyobulambuzi era Kanye n’omukyala Kim, bakudde mu February okwogera ku nsonga eyo.

Kiwanda mu lungereza agambye nti, “We are recruiting Good Will Tourism Ambassadors, Our brother Kanye and his wife Kim are coming back in February”.

Kanye West, Pulezidenti Museveni ne Kim
Kanye West, Pulezidenti Museveni ne Kim

Kanye n’omukyala Kim babadde mu Uganda omwezi oguwedde ogwa August era basobodde okulambula ebintu ebyenjawulo omuli n’okukyalira omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu maka g’obwa Pulezidenti Entebe.

Wabula Kiwanda agamba nti nga 7, November, 2018, agenda kulangirira ba Ambasadda abalala basatu (3) abagenda okuyambako okutumbula ebyobulambuzi omuli n’omukyala Zari Hasan.