Pallaso, Fik Fameica ne Geo Steady bagudde mu ssente, bebalondeddwa okuva mu Uganda okukyamula abantu ku mukolo
Abayimbi okuli Pallaso, Fik Fameica ne Geo Steady bagudde mu bintu, balondeddwa okuyimba ku mukolo gwa Awards ogwa Abryanz Style & Fashion Awards omwaka gunno.
Omukolo gwakubaayo 7, December, 2018 ku Serena Hotel mu Kampala era gutegekebwa Abryanz buli mwaka.
Ssente ezawereddwa abayimbi abo tezimanyiddwa wabula kiteberezebwa nti basuubiziddwa omusimbi oguwera.
Omutegesi Abryanz asuubiza ebirungi bingi ku mukolo ogwo.
Wabula kimanyiddwa nti omuyimbi Jose Chameleon alina konsati nga 7, December, 2018 ku Lugogo Cricket Oval era Pallaso y’omu ku bayimbi abasuubirwa okuyimbirako Chameleon kyoka tekimanyiddwa engeri gy’agenda okukwatamu ensonga.