Omusajja eyakwatibwa ku by’okutta eyali DPC w’ebuyende Muhammad Kirumira akomezebwawo mu kkooti y’e Wakiso enkya ya leero, omulundi Ogwokusatu, okutegeezebwa ab’oludda oluwaabi webatuuse mu kunoonyereza.

Abubaker Kalungi myaka 42 nga mu bazzi mu bitundu bye Bulenga, avunanibwa emisango ebbiri okuli okutta Kirumira n’omukyala Resty Mbabazi nga bakubwa amasasi agaabatiirawo nga 8, September, 2018 e Bulenga mu Disitulikiti y’e Wakiso.

Omugenzi Muhammad Kirumira
Omugenzi Muhammad Kirumira

Oludda oluwaabi lukulembeddwamu Kamushabe Mariam ate kkooti ekubirizibwa Omulamuzi w’eddala erisooka Martin Kirya.

Kalungi yasindikiddwa ku limanda e Kigo sabiti ewedde.

Mu kkooti y’e Wakiso, Kalungi takirizibwa kunyega kigambo kyona kuba emisango egimuvunaanibwa gya naggomola egiteekeddwa okuwulirwa mu kkooti enkulu yokka.

Mungeri y’emu oludda oluwaabi lukyanoonya abantu abalala abenyigira mu ttemu eryo.