Abantu basatu bebakatibwa ku ttemu eryakoleddwa ku mwana omuwala Vivian Nalunga mwaka gumu n’ekitundu mu bitundu bye Kiwatule sabiti eno ku Mmande.

Abakwattiddwa kuliko nnyina w’omwana Nakalema Harriet myaka 32, omuyambi we Annet Mwagale 42 ne nnyina Annet Mulindwa myaka 68.

Okusinzira ku Poliisi, Nakalema abadde akola bwa yaaya e Kiwatule, yakutte omwana we, namusalako ebitundu by’ekyama, namuggyamu ebyenda, natwala omwana mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okuwudiisa abasawo nti omwana mulwadde nnyo yetaaga obujanjabi.

Poliisi n'ebimu ku bizibiti
Poliisi n’ebimu ku bizibiti

Abasawo basobodde okumwekengera oluvanyuma lw’okwekebejja omwana ne batemya ku Poliisi era nakwatibwa.

Ebyakazuulibwa, Poliisi egamba nti ebimu ku bitundu ebyaggiddwa mu mwana bizuuliddwa kyoka bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Ate omukyala Mwagale, alambuludde engeri omwana gye yattiddwa mu bukambwe n’okusikayo ebyenda.

Maama Nakalema Harriet
Maama Nakalema Harriet

Agamba nti basobodde okweyambisa eggirita okusala ebitundu by’ekyama n’omuntu wafulumira, okwanguyirwa okusikayo ebitundu by’omunda.

Mungeri y’emu agambye nti maama w’omwana Nakalema, yawereddwa ssente muganda we Rwensisi Angella, awangalira mu ggwanga erya Canada, okumusindikira ebitundu eby’omuntu, eby’omwana omuto nga byamusabiddwa omusawo w’ekinnansi.

Abakwatte bali ku Poliisi y’e Kiira ku misango gy’obutemu era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti.