Omuyimbi Eddy Kenzo omu yekka eyakawangula engule ya BET mu Uganda, alondeddwa okuvuganya mu Awards za SLEA2K18 Awards mu ggwanga erya Sierra Leone.
Kenzo amanyikiddwa mu mawanga agenjawulo olw’ennyimba ze omuli Zigido, Viva Africa, Mbilo Mbilo, Jambole, Sitya Loss n’endala era mu Uganda y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba ebweru w’eggwanga.
Kenzo agenda kuvuganya abayimbi abenjawulo omuli WizKid, Davido, Stone Bwoy, Casper Nyovest, Tekno, Tiwa Savage, Nega Don, Olamide, Flavour ne Sarkodie ku ky’omuyimbi asinga mu Africa.
Mu kuvuganya mu Awards ya “Africa Best Artist” omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania eyali bba wa Zari Hassan talondeddwa ekiraga nti Kenzo amusinga nnyo mu kuyimba mu East Africa.
