Sylvia Owori atabukidde abawagizi ba Bobi Wine, azzeemu okulumbagana Barbie, aba People Power bawanda muliro
Bangi ku bannayuganda batandiise okwebuuza ensibuko y’obutakwatagana wakati Sylvia Owori n’omukyala wa Bobi Wine, Barbie Itungo.

Kigambibwa Owori yasobodde okweyambisa omutimbagano ( internet) okulumba Barbie nga bwatasobola kukyusa bulamu bw’abaana bawala wadde okubasikiriza okukola ekintu kyona.
Ku nsonga eyo, bangi ku bawagizi ba Bobi Wine ne Barbie basobodde okulumbagana Owori nga bwali omukyala omukulu ennyo, alina okwesonyiwa Barbie kuba ye yalemwa.




Wabula Owori naye alemeddeko era abanukudde nti “tayinza kutisibwatisibwa lwa bungi bw’abantu”.
