Omukyala Zari Hassan emirimu gye agitandikidde mu maanyi, ekiyinza okuyamba eggwanga Uganda okututumuka mu byobulambuzi.
Zari yawereddwa Obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi mu ggwanga era okusinzira ku minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, Uganda yetaaga abantu nga Zari okutumbula ebyobulambuzi.
Wadde bamu ku bannayuganda bagamba nti Gavumenti eremereddwa era y’emu ku nsonga lwaki beeyambisa abantu nga Zari, Minisita Kiwanda alemeddeko ku nsonga eyo.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okusaba abantu okumutegeeza ekifo kyona kyebagala okulambula mu Uganda.
Agamba nti ataddewo ssente okulambuza omuntu yenna, abaagalana, famire, abalenzi oba abawala ku bwereere ku kampeyini etumiddwa “TulambuleNeZari”.
Ku WhatsApp agambye bwati mu Lungereza “Tell me places you’d love to visit in Uganda, better still Google all tourist attractions in Uganda and let me know where you’d like to visit. I could offer an all paid expense trip (Ofcourse courtesy of me, The Bosslady) for you and your partner or family or better still, a boy’s or girl’s get away trip. Legoooo! Oh, tag that person you’d love to get away with“.