Abayizi ba P7 enkya ya leero batandiise ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebya Universal Primary Education (UPE).

Mu ggwanga lyona, abayizi 671,923 bebewandiisa okutuula ebigezo ebyo mu massomero 13,072.

Abayizi 476,131 bavudde mu massomero ga Universal Primary Education (UPE) ate 195,792 ag’obwananyini (Private Schools).

Ku bayizi 671,923,  346,963 bawala ate 324,960 balenzi.

Okusinzira ku kitongole ky’ebigezo mu ggwanga, UNEB bayungudde abakuumi abasukka mu 10,000 okwetolola eggwanga lyona.