Poliisi y’e Iganga ekutte omukulu w’essomero lya Buharain Nursery and Primary School ku by’okubulankanya ensimbi z’abayizi, abasoma eky’omusanvu era basubiddwa okutuula ebigezo byabwe.
Farouk Dhikusooka yakwatiddwa nga yalya ensimbi z’abaana 20.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Busoga East, James Mubi, ssente okubulankanyizibwa zalimu abantu abenjawulo omuli akulira okulondola amassomero mu kitundu George Tigawalana, kyokka bonna bakwattiddwa, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Abazadde babaana bawanjagidde Poliisi okubonereza abantu bonna abenyigidde mu kubulankanya ssente, okufiriza abaana babwe okusomesa ekiyinza okubavirako okwekyawa.