Bya Nakaayi Rashidah
Abavubuka ba National Resistance Movement (NRM) mu bitundu bya Kampala balabudde okufafagana n’abantu bonna abakulembeddemu okuyita Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni erinnya erya “Bosco”.

Abavubuka bagamba nti Pulezidenti Museveni alina abantu bangi nnyo abamwagala ng’abo betegese okutwala mu kkooti omuntu yenna anaddamu okuyita Museveni erinnya erya Bosco ate balina n’amaggye okubalwanyisa.
Okubyogera, babadde basisinkanyeko avunanyizibwa ku by’ensimbi mu maka g’obwa Pulezidenti, Lucy Nakyobe ku Biyem Hotel e Mengo enkya ya leero.

Nakyobe abadde asindikiddwa Pulezidenti Museveni okuzuula lwaki abavubuka mu kibiina kya NRM okuva mu ggoombolola za Kampala omuli Kampala Central, Kawempe, Lubaga, Makindye ne Nakawa babadde balemeddeko nga bagaala okumusisinkana.

Abavubuka basabye Pulezidenti Museveni okubayamba okulwanyisa ebbula ly’emirimu omuli okubawa ssente okufuna ebyuma okwoza emmotoka mu ggoombolola zonna mu Kampala n’okutandikawo obulimu obusaamusamu.
Nakyobe abasuubiza okutwala ensonga yabwe eri ssentebbe w’ekibiina Museveni era abasabye okuwagira ekibiina kyabwe kuba ensonga zabwe zonna zigenda kolebwako era singa ebisubiziddwa Museveni bikolebwa, pulojekiti yonna yakuwementa obuwumbi 2.5.
Eddoboozi lya Abavubuka