Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto n’eyoola abantu abateeberezebwa okuba mu kibinja ky’abakyamu batigomya Bannakampala.
Okusinzira ku Poliisi, sabiti eno, abantu 146 bakwatiddwa ate 38 bayimbuddwa oluvanyuma lw’okusunsulwamu nga bayambibwako abakulembeze ku byalo.
Ekikwekweeto, kitunuulidde abanyakula ensawo z’abakyala, amassimu, abenyigidde mu kubba ebintu ebyenjawulo, okunywa enjaga n’okubba ebintu ku mmotoka era kyakoleddwa ku nguudo ezenjawulo Market Street, Platinum House, Allen Road, Nakivubo Channel, Nabugabo n’ebitundu ebirala.
Abakwatiddwa batigomya abatuuze b’e Makindye, Ndeeba, Kinyoro, Kisenyi, Katwe, Kiseeka, Kikoni, Kasubi, Kawala ne Nakulabye.
Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano Moses Kafeero, ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okukwata abantu abakyamu mu Kampala, okubalemesa okutigomya abantu mu nnaku enkulu eza ssekukulu.





