ENTIISA ebutikidde abatuuze ku kyalo Matete mu disitulikiti y’e Ssembabule, omuyizi abadde yakamala ebigezi bya S4 bwafiridde mu kidiba ky’ebyennyanja.
Peter Lukwata myaka 18, abadde yakamala ebigezo ku Matete town college school e Sembabule.
Okusinzira ku Jude Kiganda, omu ku batandikawo essomero, Lukwata kati omugenzi ne banne, bageenze okuwuga olw’essanyu nga bakomekereza ebigezo byabwe era nga banne bamusuubiza okumuyigiriza okuwuga kyoka bazzeemu okutegezebwa nti omwana afiridde mu mazzi.
Ate okusinzira ku taata w’omugenzi, Paul Ssenkandwa, essannyu ly’omwana okumala ebigezo, libadde ly’akaseera era awanjagidde bekikwatako, okulemberamu okubbika ekidiba okutangira abantu okweyongera okufa.
Ku nsonga eyo, adduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Latif Zaake agambye nti ekidiba omwana mwafiridde kiwanvu nnyo era bakubidde Poliisi ya balubbira okuva mu Kampala okuggyayo omulambo.