Abagaalana bafunye obutakkaanya mu disitulikiti y’e Luweero omusajja natta muganzi we mu bukambwe oluvanyuma naye ne yetta.

Embeera eyo, ebadde ku kyalo Kalongo zone mu kibuga kye Luweero, omusajja Suleiman Jjuuko bw’asse muganzi we, atamanyiddwa ku kitundu.

Emirambo gyabwe gisangiddwa mu nnyumba ey’emizigo ebbiri, gy’abadde apangisa ku ssaawa 10 ez’ekiro oluvanyuma lwa Poliisi okutemezebwako abatuuze.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Kalongo zone, Ismael Kikabi, omukyala muganzi wa Jjuuko yatuuse akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yeetikkidde bba omukwano kyokka wayiseewo essaawa mbale, abatuuze kwekuwulira abagaalana nga bali mu kulwanagana kwekutemya ku Poliisi.

Ssentebbe Kikabi agamba nti Jjuuko olwamaze okutta muganzi we, yetugidde mu nnyumba era yasangiddwa ng’alengejja.

Paul Kangave
Paul Kangave

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Paul Kangave, agambye nti emirambo gyombi gyatwaliddwa mu ddwaaliro lye Luweero Health Center IV okwekebejjebwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Kangave era akakasiza nti Poliisi ekyanoonya famire z’abagenzi okwasibwa emirambo batekateeke okuziika.