Poliisi mu Kampala yakakwata abantu 333 mu bikwekweeto ebyenjawulo ebikoleddwa mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, abakwattiddwa mulimu abanyakula ensawo z’abakyala, okubba amassimu, emmali y’abasuubuzi, okunywa enjaga era abamu, basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Oweyesigyire era agambye nti abamu ku bakwate basangiddwa n’ebintu ebiteberezebwa okubeera ebibe.
Poliisi egamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okukwata abantu bonna abatigomya Bannakampala.