OMULABIRIZI wa West Buganda, Bp. Henry Katumba Tamale, asabye abazadde abafiriddwa abaana babwe ku ssomero lya St Bernard’s Mannya Secondary School e Rakai bakirize abaana bonna baziikibwe mu ntaana emu.
Abayizi abasukka 10, baafiridde mu muliro ogwakutte ekizimbe ky’abayizi abalenzi aba S3 era 9 kubbo, baafuuse bisiriiza era bali mu mikono gya Poliisi, okwekebejjebwa endaga butonde (DNA), buli muzadde, afuneko omwana we, okutekateeka okuziika.

Wabula BP. Katumba agamba nti abazadde bakirize abaana baziikibwe mu ntaana emu nga bwe gwali ku bajjulizi abattibwa elw’eddini yabwe.
Abayizi abafudde kuliko Geofrey Lutaaya, Charles Suuna, Emmanuel Kasozi, Moris Basiita, Sharif Dodiye, Timothy Bukenya, Antonio Ssekitende, Remegious Tamale ne Sam Nsubuga.
Abamu ku bayizi abali mu ddwaaliro e Kitovu mulimu Rashid Bbosa, Geofrey Arinaitwe, Bryn Ssendyowa , Jerome Frank Kamanda, Henry Sserukeera ne Billgates Niwagaba, abalala batwaliddwa mu ddwaaliro lye Kaliisizo.
Ekifaananyi kya Bukedde