Kkooti ya Buganda Road eyongezaayo okuwuliriza omusango oguvunanibwa Brian Isiko myaka 25 omuyizi ku YMCA ettabi lye Jinja.
Isiko avunaanibwa omusango gw’okukozesa obubi kompyuta bwe yaweereza omubaka akiikirira abakyala b’e Kabalore, Sylivia Rwabwogo obugambo obumukwana nga kigambibwa nti kino kyamummalako emirembe. Kigambibwa nti wakati wa November 2017 ne June 2018 emyezi gino Isiko yali ku mikutu gwa facebook nga agezaako okukwana omubaka Rwabwogo.
Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 23, November, 2018 kuba omulamuzi Stella Amabirisi ali mu ggwanga erya America mu kibuga Washington DC ku mirimu egyenjawulo.
Kinnajjukirwa omulamuzi wa kkooti enkulu Jane Frances Abodo yagyako Isiko ekibonerezo eky’okusibwa emyaka ebbiri (2) nalagira omusango guddemu okuwulirwa oluvanyuma lwa Isiko okwegaana emisango egyamugulwako.