Kyaddaki Omuyimbi Rema Namakula ensonga ezimunyiga azikwasiza Omutonzi okusobola okuzirwanyisa.
Mu Uganda, bangi ku bawagizi ba Rema bagamba nti bba Eddy Kenzo asukkiridde okumusuulirira mu ngeri ezenjawulo omuli n’ensonga z’omu kisenge era kiteberezebwa nti Kenzo alina abakyala abalala bakwasaganya mu nsonga z’omukwano.

Gye buvuddeko, Rema yafulumya oluyimba ‘Siri Muyembe’ era bangi ku bannayuganda bagamba nti yali ategeeza bba Kenzo okweddako n’okumutegeeza alina ennyonta ya laavu.

Mu kiseera kino, Kigambibwa Kenzo ali bweru wa ggwanga mu Dubai n’omuyimbi Lydia Jazmine era mbu enkolagana wakati wabwe yeyongedde.
Wabula Rema asobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ okutegeeza nti Katonda yamulwanira entalo ze mu mbeera yonna.
“When you know God has everything in control“, bwatyo Rema bwategeezeza.