Omuyimbi Bebe Cool alangiridde okugaba obukadde 3.7shs eri omuntu yenna ayinza okunyonyola gyenvudde we ng’asinzira ku bifaananyi bye.

Bebe Cool asobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ okuwa abawagizi be ebifaananyi ebbiri okuli ekya 1994 ne 2018, okuwandiika emboozi ku gyenvudde we obutasukka bigambo 500.

Ku omutimbagano gwa ‘Face book’, Bebe Cool agambye nti, “This is Bebe Cool then and now.They say pictures tell alot and these two pictures,one taken in 1994 and the other taken in 2018 have alot to say about me.
Describe my life story in a short t comment(Not more than 500 words) and you win 1k dollars(3.7M Ugsh) on boxing day. #DEC_26_TONDEKA_EKIWATULE_MUTIMA_GWA_ZABU.In your shot story,include what you think you may learn from the two pictures“.

Wabula abamu ku bantu omuli n’abawagizi b’ekisinde kya People Power bamwanukudde mu bukambwe.