Abaana bakaabidde mu kkooti enkulu e Masaka we batwaliddwayo okuwa obujjulizi ku musajja eyabasobyako nga 9, October, 2015.
Abaana babiri (2) okuli myaka 8 ne 11, balumiriza Samula Matovu myaka 34, omutuuze ku kyalo Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo okubasobyako ng’asinzira mu nnyumba ye, oluvanyuma lw’okubasuubiza ssente ne by’okulya ebirungi.

Taata w’abaana Hassan Ntambaazi agamba nti wadde Matovu yakwatibwa emyaka 3 egyakayita, abaana baluddewo okufuna obwenkanya mu kkooti ate nga baswazibwa ku kyalo kyonna.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Nkwasibwe, lusabye omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Winfred Nabisinde, Matovu okusibwa amayisa kuba abaana bakosebwa bya nsusso mu bwongo.
Omulamuzi Nabisinde ayongezaayo omusango gwo, okutuusa nga 27, November, 2018, Matovu okusobola okwewozaako.
Ate ssentebbe w’ekyalo Kasambya mu ggoombolola y’e Kinoni, Mastula Nanyunja awanjagidde omulamuzi Nabisinde, omusajja Matovu okuwebwa ekibonerezo ekigwanidde n’okuba eky’okuyiga eri abasajja abalala.